MORNING PRAYERS

Sign of the Cross
Angelus

The Angel of the Lord declared to Mary: And she conceived by the Holy Spirit.
Hail Mary, etc
Behold the handmaid of the Lord:

Be it done to me according to your World
Hail Mary, etc
And the Word was made flesh

And dwelt among us.
Hail Mary, etc
Pray for us, O Holy Mother of God.

That we may be made worthy of the promises of Christ
Let us pray
Pour forth, we beseech you, O Lord, your grace into our hearts; that we, to whom the Incarnation of Christ, your Son, was made known by the message of an angel, may by his passion and cross be brought to the glory of his resurrection. Through the same Christ our Lord. Amen.

Prayer to our guardian angel

Angel of God, my guardian dear, to whom God’s love entrust me here, ever this day, be at my side to light and guard, to rule and guide. Amen.

I adore you, my God, and I love you with all my heart. I thank you for having created me, made me a Christian, and kept me this night.
I offer you my actions of this day, grant that they all may be according to your holy will and for your greater glory. Keep me from sin and all evil.
May your grace be always with me and with all my dear ones. Amen.

Our Father, who art in heaven, hallowed be thy name, thy kingdom come, thy will be done on earth as it is in heaven. Give us this day our daily bread, and forgive us our trespasses as we forgive those who trespass against us, and lead us not into temptations, but deliver us from evil. Amen.

Hail Mary

Hail, Mary, full of grace, The Lord is with you. Blessed are you among women, and blessed is the fruit of your womb, Jesus. Holy Mary, Mother of God, Pray for us sinners, now and at the hour of our death. Amen.

I believe / Creed

I believe in God, the Father almighty, creator of heaven and earth. I believe in Jesus Christ, his only Son, our Lord. He was conceived by the power of the Holy Spirit, and born of the Virgin Mary. He suffered under Pontius Pilate, was crucified, died and was buried. He descended to the dead. On the third day he rose again. He ascended into heaven, and is seated at the right hand of the Father. He will come again to judge the living and the dead. I believe in the Holy Spirit, the holy Catholic Church, the communion of saints, the forgiveness of sins, the resurrection of the body, and the life everlasting. Amen.

Act of Faith

O my God, I firmly believe that you are one God in three divine persons, Father, son, and Holy Spirit. I believe that your divine Son became man and died for our sins and that he will come to judge the living and the dead. I believe this and all the truths which the holy Catholic Church teaches because you have revealed them who are eternal truth and wisdom, who can neither deceive nor be deceived. In this faith I intend to live and die. Amen.

Act of Hope

O my God, relying on your infinite goodness and promises, I hope to obtain pardon of my sins, by the help of your grace, and life everlasting, through the merits of Jesus Christ, my Lord and Redeemer. Lord, grant me to be with you forever. Amen.

Act of Charity

O Lord God, I love you above all things, with my whole heart and soul, because you are all good and worthy of all my love. I love my neighbor as myself, for the love of you. I forgive all who have offended me and I ask pardon of all whom I have offended. Lord, grant that I may love you more. Amen.

Act of Contrition

O my God, I am heartily sorry for having offended you, and I detest all my sins, because of your just punishments, but most of all, because they offend you, my God, who are all good and deserving of all my love. I firmly resolve, with the help of your grace, to sin no more and to avoid the near occasions of sin. Amen

Memorare

Remember, O most loving Virgin Mary, never was it heard, that anyone who turned to you for help was left unaided. Inspired by this confidence, though burdened by my sins, I run to your protection for you are my mother, mother of the word of God, do not despise my words of pleading but be merciful and hear my prayer. Amen

Nga omukristu yakazukuka

Mu linnya lya Patri, n’erya Mwana, n’erya Mwoyo Mutuukirivu, Amiina.

Essaala ey’okuzuukuka, katonda wange nkusinza, nkwewadde nzenna omulamba, nkwegayiridde, olunaku olwa leero lumbeerere lulungi.

Katonda wange Indulgensia zonna, ezisibiddwa ku ssaala ze nnaasoma leero, ne ku bikolwa bye naakola zemmanyi ne ze ssimanyi zonna njagala okuzifunira ddala. Amiina.

Ayi Malayika wange, Katonda gwe yaggya mu kisa kye n’amuteekako okunkuuma, kkiriza okuntangaaza, n’okuntaasa, n’okunnungamya n’okunfuga. Amiina.

Katonda wange nzikiriza nga oli wano, nkusinza, nkwagala n’okwagala kwonna okw’omwoyo gwange. Ankwebaza kuba ggwe wanonda n’onnunuza omwana wo gw’oyagala, n’onfuula omukristu, ate nkwebaza buli nneema gy’ompa naddala kuba okuumyye obulamu bwange mu kiro kino.

Nkuwadde omwoyo gwange, n’omubiri gwange n’okulowooza kwange, n’ebigambo byange, n’ebikolwa byange, n’ennaku zange eza leero wamu na ziri eza Yezu Kristu, Mukama waffe, okukutenda n’okukugatta olw’ebibi byange. Saagalira ddala kukujeemera leero. Naye ompe enneema yo.

Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litiibwe, obwakabaka bwo bujje, byoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe leero emmere yaffe aya buli lunaku, tusonyiwe ebibi byafe, nga naffe, bwe tusonyiwa abatukola obubi, totutwala mu kukemebwa, naye tulokole mu bubi. Amiina.

Mirembe Maria, ojjudde enneema, Omukama ali naawe, oliwa mukisa mu bakazi bonna, ne Yezu Omwana w’enda yo, wa mukisa, Maria Omutuukirivu, Nyina Katonda, tusabire ffe aboonoonyi, kaakano ne mu kaseera ak’okufa kwaffe. Amiina.

Nzikiriza Katonda, Patri Omuyinza wa buli kantu Omutonzi w’eggulu n’ensi; ne Yezu Kristu, Omwana we ali omu yekka, Mukama waffe, eyali mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu Maria Omubeererevu n’amuzaala, n’abonaabona ku Mirembe gya Ponsio Pilato, n’akomererwa ku musaalaba, n’afa n’azuukira mu bafu, n’alinnya mu ggulu, atudde ku ddyo ogwa Katonda Patri Omuyinza wa buli Kantu; alidda okulamula abantu abalamu n’abafu. Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, n’Eklezia Katolika Omutukuvu, n’okussa ekimu okw’abatuukirivu, n’ekisonyiwo eky’ebibi, n’okuzuukira kw’emibiri n’obulamu obutaggwaawo. Amiina
Essaala ey’okukkiriza, Katonda wange, nzikiriza nnyo eby’amazima byonna Ekelezia Katolika by’atuyigiriza kuba ggwe nnyini eyabimubuulira toyinza kwerimba naffe kutulimba.

Essaala ey’okusuubira, Katonda wange, nsuubira mu kisa kyo ng’olimpa enneema yo munsi ate bwenkwata ebiragiro byo nga olimpa obulamu obutaggwawo mu ggulu kuba gwe eyabitulazaanya okutuukiriza ddala endagaano zo.

Essaala ey’okwagala, Katonda wange,nkwagala nnyo n’omwoo gwange gwonna, okusinga ebintu byonna, kuba ggwe mulungi ennyo, omwagalwa ddala, ate njagala abantu bonna nga bwe nneeyagala okubeera ggwe.

Essaala ey’okubonerera, Katonda wange mboneredde nnyo ebibi bye nnakola, kuba ggwe mulungi ennyo omwagalwa ddala, ate kuba okyawa ekibi, nga mpeereddwa ennema yo, nkomye kuno, sigenda kukujeemera.

Ayi Maria omutuukirivu,naawe Malayika wange omukuumi, n’abatuukirivu mwena abali mu ggulu, munkuume mu lunaku luno. Amina.

Ayi Maria ow’ekisa, jjukira nga obwedda n’obwedda tibawuliranga nga wali oyabulidde omuntu addukira gy’oli okumukuuma, nga akuwanjagira okumuyamba, era nga akusaba okumuwolereza. Nange nno, ayi Maria mugole w’ababiikira, Nnyabo, nzirukidde gy’oli nga nkwesiga bwe ntyo, nzize gy’oli neevuunise ku bigere byo, nga nkaaba olwebibi byange. Ayi Nnyina Kigambo, wulira okwegayirira kwange; ku lw’ekisa kyo, ompe kye nkusaba. Amiina.

Ayi Maria eyagwa mu nda nga toliimu kibi kisikire, tusabire ffe abaddukira gy’oli.

Essaala ey’okusaba obutukuvu, Yozefu Omutuukirivu,omukuumi w’ababeererevu ne kitaabwe! Okubeera obwesigwa obutaddiririra Katonda yakukwasa obutukuvu bwennyini, ye Yezu Kristu, n’akukwasa ne Maria Nyaabwe w’ababeererevu, olw’abaatereswa abo bombi Yezu ne Maria, abakulembera ebyagalwa byonna, nkwegayiridde n’okukwesengereza, mponya buli kigwagwa kyonna,ompe emmeeme eteriiko kabi, n’omwoyo omulongoofu, n’omubiri omutukuvu, ndyoke mpeereze Yezu ne Maria nga ndi mutukuvu ddala.

.................................................................................................................................................

Mu linnya lya Patri, nerya Mwana n’erya Mwoyo Mutuukirivu. Amiina.

OKWEGAYIRIRA OKW’AKAWUNGEEZI

Akabonero k’omusalaba
Katonda wange nzikiriza nga oli wano, nkusinza, nkwagala n’okwagala kwonna okw’omwoyo gwange. Nkwebaza kuba ggwe wantonda nonunuza omwana wo gwoyagala, n’onfuula omukristu, ate nkwebaza buli nneema gy’ompa naddala kuba okuumye obulamu bwange mu lunaku luno.

Osinzanga Katonda omu yekka, era omwagaliranga ddala
Toloayiriranga bwereere mu linnya lya Katonda
Olongoosanga olunaku lwa Katonda
Otyanga kitaawo ne nnyoko
Tottanga
Toyendanga
Tobbanga
Olekanga okuwaayiriza n’okulimba
Tiweegombanga mukazi wa bandi
Tiweegombanga bintu bya bandi

Katonda wange mpa enema, ey’okumanya n’ey’okubonerrera ebibi bye nkoze leero.(Tujjukire ebibi byaffe ebya leero). Akasiriikiriro.

Tuddaabirize Omutima gwa Yesu ogwasoggwa effumu okubeera ebibi byaffe.

Essaala ey’okubonerera, Katonda wange mboneredde nnyo ebibi bye nnakola, kuba ggwe mulungi ennyo omwagalwa ddala, ate kuba okyawa ekibi, nga mpeereddwa ennema yo, nkomye kuno, sigenda kukujeemera.

Katonda ggwe omulungi ennyo,wa omukisa mu Eklezia wo, n’abantu ab’ensi eno, ne baganda bange, ne mikwano gyange, n’abatanjagala; kuuma bulungi bakulu bange ab’eddiini n’abensi. Kyusa emyoyo gy’abantu abatakkiriza, naddala abali mu nsi muno; komyawo abavudde mu Ekeleziya, n’aboonoonyi; nyweza abalungi; tuusa bulungi abali mu lugendo, juna abaavu, n’abanaku, n’abasibe, n’abalwadde, n’abazirika; sonyiwa emyoyo egiri mu purgatooli; mpa ekiro ekirungi, n’e nneema ey’okufa nga nkwagala.

Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litiibwe, obwakabaka bwo bujje, by’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku, tusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukola obubi, totutwala mu kukemebwa, naye tulokole mu bubi. Amiina.

Mirembe Maria, ojjudde enneema, Omukama ali naawe, oliwa mukisa mu bakazi bonna, ne Yezu Omwana w’enda yo, wamukisa, Maria Omutuukirivu, Nyina Katonda, tusabire ffe aboonoonyi, kaakano ne mu kaseera ak’okufa kwaffe. Amiina.

Nzikiriza Katonda, Patri Omuyinza wa buli kantu Omutonzi w’eggulu n’ensi; ne Yezu Kristu, Omwana we ali omu yekka, Mukama waffe, eyali mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu Maria Omubeererevu n’amuzaala, n’abonaabona ku Mirembe gya Ponsio Pilato, n’akomererwa ku musaalaba, n’afa n’azuukira mu bafu, n’alinnya mu ggulu, atudde ku ddyo ogwa Katonda Patri Omuyinza wa buli Kantu; alidda okulamula abantu abalamu n’abafu. Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, n’Eklezia Katolika Omutukuvu, n’okussa ekimu okw’abatuukirivu, n’ekisonyiwo eky’ebibi, n’okuzuukira kw’emibiri n’obulamu obutaggwaawo. Amiina

Essaala ey’okukkiriza, Katonda wange, nzikiriza nnyo eby’amazima byonna Ekelezia Katolika by’atuyigiriza kuba ggwe nnyini eyabimubuulira toyinza kwerimba naffe kutulimba.

Essaala ey’okusuubira, Katonda wange, nsuubira mu kisa kyo ng’olimpa enneema yo munsi ate bwenkwata ebiragiro byo nga olimpa obulamu obutaggwawo mu ggulu kuba gwe eyabitulazaanya okutuukiriza ddala endagaano zo.

Essaala ey’okwagala, Katonda wange,nkwagala nnyo n’omwoo gwange gwonna, okusinga ebintu byonna, kuba ggwe mulungi ennyo, omwagalwa ddala, ate njagala abantu bonna nga bwe nneeyagala okubeera ggwe.

Ekittibwa kibe ekya Patri, n’ekya Mwana, n’ekya Mwoyo Mutuukirivu, nga bwe kyali olubereberye, ne kaakano, na bulijjo, emirembe n’emirembe. Amiina.

Ayi Maria ow’ekisa, jjukira nga obwedda n’obwedda tibawuliranga nga wali oyabulidde omuntu addukira gy’oli okumukuuma, nga akuwanjagira okumuyamba, era nga akusaba okumuwolereza. Nange nno, ayi Maria mugole w’ababiikira, Nnyabo, nzirukidde gy’oli nga nkwesiga bwe ntyo, nzize gy’oli neevuunise ku bigere byo, nga nkaaba olwebibi byange. Ayi Nnyina Kigambo, wulira okwegayirira kwange; ku lw’ekisa kyo, ompe kye nkusaba. Amiina.

Ayi Maria eyagwa mu nda nga toliimu kibi kisikire, tusabire ffe abaddukira gy’oli.

Essaala ey’okusaba obutukuvu, Yozefu Omutuukirivu,omukuumi w’ababeererevu ne kitaabwe! Okubeera obwesigwa obutaddiririra Katonda yakukwasa obutukuvu bwennyini, ye Yezu Kristu, n’akukwasa ne Maria Nyaabwe w’ababeererevu, olw’abaatereswa abo bombi Yezu ne Maria, abakulembera ebyagalwa byonna, nkwegayiridde n’okukwesengereza, mponya buli kigwagwa kyonna,ompe emmeeme eteriiko kabi, n’omwoyo omulongoofu, n’omubiri omutukuvu, ndyoke mpeereze Yezu ne Maria nga ndi mutukuvu ddala.

Essaala ey’okugenda okwebaka, Katonda wange nkwegayiridde ekiwummulo kyange kyengenda okuwummula kimbeerere kirungi mu mwoyo gwange n’emumubiri gwange.

Ayi Maria omutuukirivu, naawe Malayika wange omukuumi munkuume nze mu kiro, ne mu kaseera ak’okufa kwange. Amiina.

....................................................................................................................

Mu linnya lya Patri, nerya Mwana n’erya Mwoyo Mutuukirivu. Amiina.

Like us on Facebook (2)

Address
Our Lady of Africa Church, Mbuya Hill | Kampala | P.O. Box 6562 | Uganda
Phone
+256414221777
Phone
+256773230620
Mail
parishpriest@ourladyofafrica.org
Web
http://www.ourladyofafrica.org

Copyright © 2017 Our Lady of Africa Parish, Mbuya. All Rights Reserved.  A CSR project by Summit Consulting Limited - Improving your Condition