OBUFUMBO
AMASOMO AG'OMU KIRAGAANO EKIKADDE
Amasooka 1, 26-28.31 a.
Yabatonda omusajja n'omukazi.
Bye tusoma mu kitabo ky'Amasooka.
Katonda n'agamba nti: Tukole Omuntu mu kifaananyi kyaffe agobereze embala yaffe, alyoke afuge eby'ennyanja, n'ennyonyi eza waggulu n'enso1o, n'ebyewalula byonna. Katonda bw'atyo n'atonda omuntu amufaanana. Yamutonda mu nfaanana ya Katonda. Omusajja n'omukazi bombi ye yabatonda n'alyoka aba wa omukisa nti: ...Mweyongere, mwale mubune ensi, mugirye. Mufuge, eby'ennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi eziri mu bbanga n'ensolo zonna ez'omu nsi. Katonda yalaba byonna bye yali akoze, wamma nga birungi nnyo.
Ebyo Omukama y'abyogera.
2) Amasooka 2, 18-24
Babeere babiri mu mubiri gumu.
Bye tusoma mu kitabo ky'Amasooka.
Omukama Katonda n'agamba nti: Si kirungi omuntu kubeera yekka. Ka mmukolere omuyambi. Awo, Omukama Katonda yakola ebisolo byonna eby'ettale, n'ennyonyi zonna ez'eggulu ng'abiggya mu ttaka, n'abireetera omuntu alabe ky'anaabiyita; buli kimu kyali kya kubeera n'erinnya omuntu lye yandikituumye. Omuntu n'atuuma amannya ente zonna n'ennyonyi ez'eggulu, n'ebisolo byonna eby'ettale. Naye tewaali muyambi asaanira muntu. Bwe kityo, Omukama Katonda, yeebasa omu ntu otulo tungi. Bwe yali nga yeebase n'amuggyamu olumu ku mbiriizi ze n'azzaawo omubiri. Omukama Katonda, olubiriizi Iwe yali aggye mu musajja n'alukolamu omukazi, n'amuleetera omusajja. Omusajja n'aleekaana nti: Otyo, Iino lye ggumba erivudde mu magumba gange era ye nnyama evudde mu nnyama yange! Ono anaayitibwanga mukazi, kubanga ono aggyiddwa mu musajja. Omusajja ky'ava alireka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
Ebyo Omukama y'abyogera.
3) Amasooka 24, 48-51. 58-67
Izaake n'ayagala nnyo Rebeka n'akubagizibwa bw'atyo olw'okufiirwa nnyina.
Bye tusoma mu kitabo ky'Amasooka.
Mu nnaku ezo, omuweureza wa Yibrayimu yagamba Labani nti: Nvuunama ne nsinza Omukama, ne ntendereza Omukama Katonda wa mukama wange, Yibrayimu, eyangirira ekisa n'ankulembera nnende mpasize mutabani wa mukama wange omuwala wa muganda wa mukama wanga. Kale nno, munaayisa bulungi mukama wange oba nedda? Muntegeeze oba simumuyise bulungi, ndyoke nzire ku ddyo oba ku kkono. Labani ne Betweri ne baddamu nti: Kino kivudde eri Mukama, ffe si buyinza bwaffe okukugamba nti: Yee oba nedda. Rebeka ali awo mu maaso go. MutwaIe, ogende, afuuke mukazi wa mutabani wa mukama wo, ng'Omukama bw'alagidde. Ne bayita Rebeka ne bamubuuza nti: Oyagala okugenda n'omusajja ono? N'addamu nti: Njagala. Bwe kityo ne baleka mwannyinaabwe Rebeka agende, n'omujjanjabi we, n'omuweereza wa Yibrayimu ne basajja be. Ne bawa Rebeka omukisa nga bagamba nti: Mwannyinaffe weeyongere okutuuka ku nkumi n'enkumi. Ezadde Iyo liwangule abalabe baalyo. Rebeka n'abaweereza be ne basituka, ne beebagala ennamiya, ne bagoberera omusajja. Omuweereza n'atwala Rebeka,
n'agenda. Izaake eyali mu Negebi. mu bbanga eryo, yali azze mu ddungu ery'oluzzi olw'e Layayi Royi. Yali atambula mu nnimiro nga buwungeera, bwe yasitula amaaso n'alaba ennamiya nga zijja. Ne Rebeka n'asitula amaaso n 'alaba Izake. N'abuuka ku nnamiya yeo N'abuuza omuweereza nti: Omusajja oyo y'ani, atambula mu nnimiro okutusisinkana? Omuweereza n'addamu nti: Ye mukama wange, n'alyoka addira ekitambaala ne yeebikka ku maaso. Omuweereza n'anyumiza Izaake byonna nga bwe byagenda. Izaake n'atwala Rebeka mu weema ye n'amufuula mukazi we, n'amwagala. Izaake n'akubagizibwa bw'atyo olw'okufiirwa nnyina.
Ebyo Omukama y'abyogera.
4) Tobi 7, 9c-10.11c-17.
Yennyini abagatte, abawe n'enneema ze.
Bye tusoma mu kitabo kya Tobi.
Mu nnaku ezo, Ragweri n'ayaniriza abagenyi be n'essanyu lingi, ne basituka, ne banaaba mu ngalo, ne batuula ku mmeeza okulya. Awo Tobiya n'agamba Rafayeli nti: wattu Azariya, bw'osaba kati Ragweri ampe mwannyinaze Sarra! Kazzi ne Ragweri ekigambo ekyo kimugudde mu kutu, ye kwe kugamba omuvubuka nti: Weeriire mmere yo, era nywa, tiweemalira biseera bye akawungeezi kano, anti teri muntu mulala yenna alina buyinza kuwasa muwala wange Sarra okuggyako ggwe, muganda wange. Nange nzennyini sikkirizibwa kumugabira mulala yenna, nga ggwe ow'oluganda olw'okumpi w'oli. Kale nno kati, muto wange, njagala nkubuulire kyere. Nnageza emirundi musanvu okumuzuulira omusajja mu ba ganda baffe, era bonna baafanga akawungeezi ako kennyini bwe babanga baakayingira mu kisenge gy'ali. Naye ggwe mwana wange, mu kiseera kino tofaayo, weeriire era nywa. Omukama anaakuwa enneema ye n'eddembe lye. Tobiya n'addamu nti: Nze sijja kuwuliriza kya kunnamba kulya na kunywa okutuusa ng'olina ky'onsaliddewo. Ra gweri n'addamu, nti: Kale, okusinziira mu tteeka Iya Musa, omuwala mmukuwadde, eggulu Iyennyini lye libiterezezza abe wuwo. Nkukwasa mwannyoko oyo. Okuva kati ggwe mwannyina era ye mwannyoko. Akuweereddwa okuva kati abeere wuwo ennaku zonna. Omukama ow'omu ggulu ajja kukuwa enneema ye n'eddembe lye. Ragweri n'ayita muwala we Sarra n'amukwata ku mukono, n'amuwa Tobiya ng'agamba nti: Nkukwasa
munno one; etteeka n'enkola ebiri mu Kitabo kya Musa bye bisalawo okukumuwa abeere mukyala WO. Mutwale, mutwale ewammwe mu maka ga kitaawo, omutima nga gukuli wamu. Katonda ow'omu ggulu abayambe mutambule bulungi mu ddembe. Awo n'akyukira nnyina w'omuwala, n'amugamba anoonyeyo olupapula oluwandiikibwako. N'awandiikako endagaano y'obufumbo nga bw'awaddeyo muwala we afumbirwe Tobiya ng'asinziira ku nteekateeka y'omu tteeka Iya Musa. Ebyo bwe byaggwa, ne batandika okuIya n'okunywa nga batendereza Katonda.
Ebyo Omukama yabyogera.
5) Tobi 8, 5-10
Ffembi otuwangaaze, tutuuke ku bukadde obwegombebwa.
Bye tusoma mu kitabo kya Tobi.
Embaga ey'obugole ng'ewedde, Tobiya yagamba Sarra nti: Mwannyinaze, yimuka. Ggwe nange tuteekwa okwegayirira, tusabe Mukama waffe, tufune enneema ye era ye atukuume. Sarra n'ayimirira, bombi ne bessa mu kwegayirira, nga basaba okukuumibwa. Yasooka bw'ati: Ayi Katonda wa bajjajjaffe, oli wa kitiibwa, n'erinnya Iyo Iya kitiibwa, ligulumizibwe emirembe gyonna Eggulu likugulumize, n'ebintu byonna bye wakola, emirembe gyonna. Ggwe watonda Adamu ne Eva, mukyala we, abeere muyambi we n'omukuumi we; mu abo bombi ne muzaalukukamu olulyo Iw'abantu. Ggwe wagamba nti: Si kirungi omuntu okuba yekka, tumukolere omuyambi amufaanana. Awo nno kati, nze okutwala mwannyinaze oyo, sigenderera kugobereramu maddu, kino nki koze n'omutima omugolokofu. Mukwatirwe nno ekisa, omusaasire, era nange onsaasire, ffembi otuwangaaze tutuuke ku bukadde obwegombe bwa. Bombi ne bagamba nti: Amiina, amiina.
Ebyo Omukama y'abyogera.
6) Oluyimba 2,8-10.14. 16a; 8, 6-7a.
Okwagala kwenkana walumbe amaanyi.
Bye tusoma mu kitabo ky'Oluyimba ssemayimba.
Kabiite mmuwulira. Laba bw'ajja nga yeebuusa ku masozi, ng'abuuka ensozi. Kabiite ali ng'empeewo, ng'ennangaazi ento. Laba ayimiridde, emabega w'olugo Iwaffe. Alingiza mu ddirisa, atunula mu mitayimbwa. Kabiite asitula eddoboozi nagamba nti: Jjangu, mukwano gwange, omwagaIwa, jjangu. kuba laba, obutiti buweddeko, enkuba ekedde, ekkiridde. Ebimuli bitandise okwanya ku nsi. Ekiseera ky'ennyimba ez'essanyu kitandise, amayiba gawulikika gakaaba mu nsi yaboffe. Omutiini gutandise okubala n'akawoowo k'emizabbibu egyanya kakoma wala. Jjangu nno, mukwano gwange, jjangu. Ejjiba Iyange, eryekukumye mu njatika z'olwazi, mu mpuku z'olusozi, njoleka amaaso go, ka mpulire ku ddoboozi Iyo. Anti eddoboozi Iyo sseenekerevu, n'amaaso go mabalagavu. Kabiite wange, wange nange ndi wuwe. Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ng'akabonero ku mukono gwo. Kubanga okwagala kwenkana walumbe amaanyi, obuggya bwenkana amagombe obukambwe. Ekimyanso kyabwe kimyanso kya muliro, kimyanso ky'Omukama yennyini. Tewali mujjuzi guyinza kuzikiza kwagala, teri mukoka asobola kukunnyika. Omuntu n'amala awaayo eby'obugagga bw'enju ye bwonna, okugula okwagala, era aba anyoomodde okwagala okwo.
Ebyo Omukama y'abyogera.
7) Siraki 26, 1-4. 16-21.
Ng'enjuba evaayo ku nsozi z'Omukama, obulungi bw'omukazi omulungi bwe buba mu nju erabirirwa obulungi.
Bye tusoma mu kitabo kya Siraki.
Yeesiimye bba w'omukazi omulungi ddala, ennaku z'obulamu bwe ziryeyongera emirundi ebiri. Omukazi omutuufu lye ssanyu Iya bba, alimala emyaka gy'obulamu bwe mu ddembe. Omukazi omulungi y'asingira ddala mu migabo emiterekere abo abatya Omukama. Ne mu bugagga ne mu bwavu baliba basanyufu mu mutima, basanyufu ku maaso buli bbanga Iyonna. Empisa ennungi ez'omukazi zirisanyusa bba. Ebikolwa bye birimufuula wa maanyi okusingawo. Omukazi omusirise kye kirabo ekiva eri Omukama, tiwali muwendo guyinza kussibwa ku mbeera egunjuddwa obulungi. Omukazi omuwombeefu kye kirabo eky'emirundi ebiri, embeera ey'obutukuvu teyinza kupimibwa ku minzaani. Ng'enjuba evaayo ku nsozi z'Omukama, obulungi bw'omukazi omulungi bwe buba mu nju erabirirwa obulungi.
Ebyo Omukama y'abyogera.
8) Yeremiya 31, 31-32a. 33-34a
Ndikuba endagaano empya n'enju ya Yisraeli n'enju ya Yuda.
Bye tusoma mu kitabo kya Yeremiya
Ennaku zijja, Omukama bw'agamba, Iwe ndikuba endagaano empya n'Enju ya Yisraeli, n'Enju ya Yuda. Teriba ng'endagaano gye nnakuba ne bajja]jaabwe Iwe nnabakwata ku mukono ne mbaggya mu nsi y'e Misri. Endagaano eyo, endagaano yange, be bo abaagimenya. Awo nno nnawalirizibwa okubategeeza ku ffembi afuga munne. Omukama bw'agamba. Nedda eno ye ndagaano gye nnenda okukuba n'Enju ya Yisraeli, ennaku zituuse, Omukama bw'agamba. Muli mu bo mu nda nja kusimbamu etteeka Iyange, ndiwandiikire ddala mu mutima gwabwe. Olwo nno ndiba Katonda waabwe, bo ne baba ggwanga Iyange. Tekijja kwetaagisa muntu kuyigiriza munne, oba ow'oluganda okugamba munne, nti: Manya Omukama! Nedda, bagenda kummanya, asembayo kyenkana ng'omukulu ddala, Omukama y'ayogera. Anti nja kubasonyiwa obubi bwabwe nga sikyajjukira kibi kyabwe.
Ebyo Omukama y'abyogera.
AMASOMO AG'OMU KIRAGAANO EKIGGYA
1) Roma 8, 31 b-35. 37-39
Ani alituggya ku kwagala kwa Kristu?
Bye tusoma mu bbaluwa Paulo Omutume gye yawandiikira ab'e Roma.
Ab'oluganda, oba Katonda ali ku ludda Iwaffe ani anaatwesimbako? Olaba n'Omwana we ye nnyini tiyamubalirira, n'amuwaayo okubeera ffe ffenna; ng'oyo amutuwadde, byonna yalema atya okubituweerako? Ani alirumiriza abalonde ba Katonda? Ye Katonda ate abatukuza. Ani ow'oku kutula ensonga? Ye Kristu eyafa, ate nnyini n'azuukira, oyo ali ku ddyo gwa Katonda, ate era y'a tukubirira. Naye mu ebyo byonna ffe tuwangula ku bw'oyo eyatwagala. Nkakasiza ddala nze: newandibadde olumbe oba obulamu, nandibadde ba malayika yadde abakungu, oba bakirimaanyi, newandibadde ebiriwo nandibadde ebirijja, newandi badde maanyi, newandibadde bya waggulu, yadde ebya wansi, newandibadde ekitonde ekirala kyonna, tikirisobola n'akatono okutuggya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristu Yew Mukama waffe.
Ebyo Omukama y'abyogera.
2) Roma 12,1-2.9-18 oba* 1-2.9-13
Emibiri gyammwe mugiveemu, mugiweereze ng'ekyonziira ekiramu, Katonda ky'asiima.
Bye tusoma mu bbaluwa Paulo Omutume gye yawandiikira ab'e Roma.
Ab'oluganda, mbeegayiridde, olw'ekisa kya Katonda, emibiri gyammwe mugiveemu, mugiweereze ng'ekyonziira ekiramu, ekitukuvu, Katonda ky'asiima. Mumuwe ekitiibwa ng'okutegeera bwe kusaba. Muleme kuyisa ng'ensi eno bw'eyisa; munda muteekwa okufuuka, emitima gidde buto, Iwe munaamanya nga Katonda ky'ayagala kirungi, kisaana, kituufu. Mwagalane awatali bukuusa; ekibi mukikyawe, ekirungi mukinywerereko. Mwagalane ng'ab'oluganda bwe baagalana, mugeze buli omu okuwa munna ekitiibwa nga munne tannamuwa. MukoIe obuteebalira nga mubugujja mu mwoyo era ng'abaweereza Omukama. Bye musuubira bibasanyuse, mu nnaku nga muguma, okwegayirira ti muteera ddala. Abatuukirivu abalina bye beetaaga
mubadduukirire, abagenyi mubasuzanga.• Ababayigganya mubasabire busabizi, mubasabira mukisa, muleke kubavumirira. Awali abasanyuka nammwe musanyuke, awali abakaaba nammwe mukaabe. Musse kimu mu mitima gyammwe, timwewanika bitaliimu ebyo, musse kimu n'abatali ba waggulu, muleke kweraga nga bwe muli abagezi Ekibi oli ky'aba abakoze muleke kukimuddiza; mulabuukirire engeri ennungi ey'okuyisa si mu maaso ga Katonda yekka naye era ne mu bantu bonna. Ku bwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna nga bwe kisoboka.
Ebyo Omukama y'abyogera.
4) 1 Korinti 12, 31 - 13, 8a
Singa sirina kwagala, siba kantu.
Bye tusoma mu bbaluwa esooka Paulo Omutume gye yawandiikira ab'e Korinti.
Ab'oluganda, mu byonna muluubirire ebitone ebisingira ddala. Kale ka mbalage ekkubo erisinga byonna. Singa njogera ennimi abantu ne bamalayika ze boogera, sso nga sirina kwagala, mba ng'ekide ekivuga, oba ng'ensaazo ezisaala. Ne bwe mba n'obuyinza obw'okulanga ebirijja, ne mmanya buli bya magero bya Katonda na buli bya magezi byonna; ne bwe ndiba n'okukkiriza kwonna ne nsigula n'ensozi: sso nga sirina kwagala, siba kantu. Ebyange byonna ne bwe ndibimalira mu kuliisa aboolo, ne bwe ndiwaayo omubiri gwange ne nsiriira, sso nga sirina kwagala, sirifuna mugaso. Okwagala kugumiikinza, kwa kisa; okwagala tikukwatirwa buggya, tikukola bitagasa, tikwepanka, tikunoonya kitiibwa, tikugoberera byakwo, tikusunguwala, tikulowooza bubi, tikusanyukira bu bi, naye kusanyukira mazima; kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuwangula byonna.
Ebyo Omukama y'abyogera.
5) Efezi 5, 2a. 21-33
Eky'amagero kino kikulu, anti ntegeeza kino ekya Kristu n'ekelezia.
Bye tusoma mu bbaluwa Paulo Omutume gye yawandiikira ab'e Efezi.
Ab'oluganda, mu bulamu bwammwe mwagalanenga, nga mulabira ku Kristu nga bwe yatwagala ne yeewaayo okubeera ffe. Buli omu agondere munne mu kutya Kristu. Abakazi bawulirenga babbaabwe nga bwe bawulira Omukama. Kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi nga Kristu bw'ali omutwe gw'Eklezia; yennyini ye Mul.okozi w'Omubiri gwe. Era ng'Eklezia bw'atwalibwa Kristu, n'abakazi bwe batyo batwalibwenga babbaabwe mu byonna. Abasajja mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristu bwe yayagala Eklezia ne yeewaayo okubeera ye okumutukuza ng'amunaaza n'amazzi ko n'ekigambo ky'obulamu, alyoke yeefunire Eklezia ow'ekitiibwa, ataliiko bbala na kamogo newandibadde akantu akalala ak'engeri eyo: naye abeere mutukuvu nga taliiko kasobye. N'abasajja bwe balagirwa okwagalanga bwe batyo bakazi baabwe, kyenkana ng'emibiri gyabwe. Ayagala mukazi we nga yeeyagadde yennyini. Kubanga edda n'edda Iyanna tiwabanga akyawa mubiri gwe; naye aguliisa, agujjanjaba, nga Kristu bw'alyowa Eklezia. Anti ffe tuli bitundu bya mubiri gwe, bya nnyama ye, bya magumba ge. Omuntu ky'aliva aleka kitaawe ne nnyina n'anyweerera ku mukazi we ne babeera bombi mu mubiri gumu. Eky'amagero kino kikulu: anti ntegeeza kino ekya Kristu n'Eklezia. Kale buli muntu mu mmwe ayagalenga mukazi we nga ye bwe yeeyagala; naye omukazi atyenga bba.
Ebyo Omukama y'abyogera.
Kolossi 3:12-17
Okwagalana kye kifundikwa ky'obutuukirivu.
Bye tusoma mu bbaluwa esooka Paulo Omutume gye yawandiikira ab'e Kolossi
Ab'oluganda, Mmwe nno Katonda be yalonda, abatuukirivu ate abaganzi, mwambalenga omutima omusaasizi, ekisa, obwetoowaze, obuteefu, obugumiikiriza; mulekeraganenga, era musonyiwaganenga nga wabaddewo alina ekigambo ku munne; ng’Omukama bwe yabasonyiwa, nammwe bwe muba mukola. Kungulu kwa bino byonna mwambalirengako okwagala kye kifundikwa ekisibira byonna awamu mu butuukirivu. Eddembe lya Kristu libeere mu mitima gyammwe; anti ekyo kye mwayitirwa ng’omubiri ogumu; mwebazenga. Ekigambo kya Kristu kibukale mu mmwe mu bugagga bwakyo bwonna. Buli omu ayigirize munne, abuulirire munne mu magezi gonna. Muyimbirenga Katonda mu mitima gyammwe zabbuli, amatenda n’ennyimba entukuvu nga mwebaza. Buli kye mukola, kibeere mu bigambo oba mu bikolwa, mukikolenga mu linnya lya Mukama Yezu, nga mwebaza Katonda Taata nga muyita mu ye.
Ebyo Omukama yabyogera.
7) 1 Petero 3, 1-9
Abakazi abatuukirivu abasuubira mu Katonda.
Bye tusoma mu bbaluwa esooka eya Petero Omutume.
Mmwe abakyala, muwulire babbammwe abatakkiriza bigambo biyigirizibwa, bwe banaalaba abakyala nga bwe bayisa, bajja kuwanguka nga timulina na kye mubagambye, ne babatya n'okubatya nga balaba bwe muyisa obulungi mu butukuvu. Obulungi bwammwe muleme kubussa mu bya kungulu: okukuba enviiri, obunyere obwa zawabu oba ebyambalo bye mwambala; wabula bu beere mu mutima munda. obugagga obutayonoo neka: anti omutima okuba mu ddembe nga guteese. Mu maaso ga Katonda, obwo bwe bugagga ddala. N'obw'edda bwonna abakyala abatuufu. abaasuubiranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga ne bawulira ne babbaabwe: nga Sara bwe yawuliranga Yibraimu ng'amuyita mukama we. Oba mwagala okuba bawala be mubeere ba mpisa, nga tiwali kye mutya na kibatabangula. Nammwe abasajja, obulamu obwa wamu mububeeremu na bwegendereza, ng'abatwala ekibya ekyatika, anti omukazi mumuwe ekitiibwa ekimugyamu, anti enneema ey'obulamu muligigabanira wamu. Mu ngeri eyo okwegayirira kwa mmwe tikubeemu kiziyizo. Leero okufunza byonna; mube ba ndowooza emu, ba mmeeme emu; mwagalenga bannammwe; mubeere ba kisa, bawombeefu, beetowaze. Abakoledde obubi timumukoleranga bubi; abavumye, mmwe timumuvumanga, wabula mumusabire busabizi mukisa; ekyo kye mwayitirwa: kusikira mukisa.
Ebyo Omukama y'abyogera.
8) 1 Yoanna 3, 18-24
Tuleme kwagaza bigambo, wabula mu bikolwa, mu mazima ddala.
Bye tusoma mu bbaluwa esooka eya Yoanna Omutume.
Baana bange tuleme kwagaza bigambo bugambo, oba akalimi kokka; wabula mu bikolwa, mu mazima ddala. Ku ekyo kWe tulitegeerera nti: Amazima tuli baago, mu maaso g'Oli omutima gulitutereera. Oba omutima gutuvunaana, Iwa kuba nti: Katonda mukulu okukira omutima gwaffe: ate amanyi byonna. Abaagalwa ennyo: omutima gwaffe bwe gutatuvunaana, mu maaso ga Katonda tuli bagumu ddala. Ne bwe tubaako kye tumusaba, ewuwe tukifuna, kubanga tukwata ebiragiro bye, ne tukola ekimusanyusa. Kino kye kiragiro kye: okukkiriza mu linnya ly'Omwana we Yezu Kristu, n'okwagalana ffekka na ffekka, nga bwe yakituwako ekiragiro. Oli akwata ebigambo bye, abeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu ye; ku kino kwe tumanyira nti: Ali mu ffe: ku Mwoyo gw'atuwadde.
Ebyo Omukama y'abyogera.
9) 1 Yoanna 4,7-12
Katonda kwe kwagala.
Bye tusoma mu bbaluwa esooka eya Yoanna Omutume.
Abaagalwa ennyo: twagalane, kubanga okwagalana kusibuka mu Katonda. Na buli yenna ayagala, oyo Katonda y'aba amuzadde era amanyi Katonda. Atayagala, aba tamanyi Katonda, anti Katonda kwe kwagala. Ku kino okwagala kwa Katonda kw'atwagalamu kwe kwalabikira: Katonda yasindika mu nsi Omwana we omu yekka gw'azaala tube balamu mu ye. Mu kino mwe muli okwagala kwe: si ffe twayagala Katonda, wabula Ye ye yatwagala n'asindika Omwana we: Ekitambiro eky'okuddaabiriza olw'ebibi byaffe. Abaagalwa ennyo: oba Katonda atwagadde obwenkana awo, naffe tuteekwa okwagalana. Katonda mpaawo yali amulabye. Bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, mu ffe okwagala kwe kuba kujjudde.
Ebyo Omukama y'abyogera.
3) Matayo 7, 21. 24-29 oba engeri ennyimpi* 21, 24-25
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo
Mu budde buli, Yezu yagamba abayigirizwa be, nti: Buli muntu agamba nti: Mukama, Mukama, si y'aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu ky'ayagala, ye wuuyo aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu. Buli awulira ebigambo byange n'abikwata, afaanaanyirizibwa ng'omuntu omugezigezi eyazimba ennyumba ye ku Iwazi. Enkuba n'efukumuka, mu koka n'ajja, kibuyaga' n'akunta, ne byebundula ku nnyumba
eyo, sso n'etegwa, kubanga yazimbibwa ku Iwazi.- Ate buli awulira ebigambo bino n'atabikwata, afaanana omuntu omuwudawuda, eyazimba ennyumba ye ku musenyu: Enkuba n'efukumuka, mukoka n'ajja, kibuyaga n'akunta, ne byebundula ku nnyumba, n'eyegukulukuka, n'etokomoka yonna. Yezu bwe yamala okwogera ebyo, abantu ne beewuunya enjigiriza yeo Kubanga yali abayigiriza nga nannyini buyinza; nga tayigiriza ng'abawandiisi baabwe n'abafarisaayo.
Ebyo Omukama y'abyogera.
4) Matayo 19, 3-6
Katonda kye yagatta, omuntu alekenga kukigattulula.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yew Kristu ebivudde mu Matayo
Mu budde buli, Abafarisaayo ne basembera awali Yezu ne bamukema, ne bamugamba nti: Omusajja ayinza okugoba mukazi we ng'amulanga buli nsonga yonna? Ye n'abaanukula n'abagamba nti: Timusomanga nti eyakola omuntu omubereberye, yakola omusajja n'omukazi, n'agamba nti: Awo nno omuntu alekenga kitaawe ne nnyina n'anywerera ku mukazi we, ne babeera babiri mu mubiri gumu. Bwe batyo nga tibakyali babiri: bafuuse omubiri gumu. Awo nno Katonda kye yagatta, omuntu alekenga kukigattulula.
Ebyo Omukama y'abyogera.
5) Matayo 22, 35-40
Eryo lye tteeka ekkulu erikulembera gonna. Eryokubiri Iifaanana ng'eryo.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yew Kristu ebivudde mu Matayo
Mu budde buli, omuyigiriza w'amateeka n'abuuza Yezu ng'amukema, nti: Muyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka gonna? Yezu n'amugamba nti: Omukama Katonda wo omwagalanga n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna. Eryo lye tteeka ekkulu erikulembera gonna. Eryokubiri lifaanana ng'eryo: Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala. Mu mateeka ago abiri mwe musibuka Etteeka Iyonna n'Abalanzi.
Ebyo Omukama y'abyogera.
6) Mariko 10, 6-9
Tibakyali babiri, wabula mubiri gumu.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Mariko
Mu budde buli, Yezu yagamba nti: Olubereberye Katonda ng'atonda, yakola omusajja n'omukazi. Olw'ekyo, omusajja alekanga kitaawe ne nnyina babiri ne bafuuka mubiri gumu. Olwo nga tibakyali babiri, wabula mubiri gumu. Awo nno Katonda kye yagatta omuntu takyawukanyanga.
Ebyo Omukama y'abyogera.
8) Yoanna 15, 9-12
Essanyu lye nnina libeere ne mu mmwe.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yoanna
Mu budde buli, Yezu yagamba abayigirizwa be, nti: Nga Kitange bw'anjagala, nange bwe mbaagala bwe ntyo! Musigale nno mu mukwano gwange! Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja ku sigala nga mb'aagala, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange ne nsigala ng'anjagala. Ebyo mbibagambye, essanyu lye nnina libeere ne mu mmwe, ate essanyu Iyammwe lituukirire. Ekiragiro kyange kiikino: Mwagalanenga nga nze bwe nnabaagala.
Ebyo Omukama y'abyogera.
9) Yoanna 15, 12-16
Ekiragiro kyange kiikino: Mwagalanenga nga nze bwe nnabaagala.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yoanna
Mu budde buli, Yezu yagamba abayigirizwa be, nti: Ekiragiro kyange kiikino: Mwagalanenga nga nze bwe nnabaagala! Tiwali ayagala ng'oyo awaayo obulamu bwe okubeera mikwano gye. Mmwe, kasita munaakolanga bye mbalagira, munaaba mikwano gyange. Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola. Mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange nnabibamanyisa. Si mmwe mwalonda nze, wabula nze nnalonda mmwe, ne mbateekawo mulyoke mugende mubale ebibala, ebibala byammwe bibeerere; buli kyonna kye muliba musabye Kitange, mu linnya Iyange, akibawe.
Ebyo Omukama y'abyogera.
22) Yoanna 17, 20-26
Njagala we ndi, nabo we baba babeera.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yoanna.
Mu budde buli, Yezu yayimusa amaaso waggulu, ne yeegayirira ng'agamba nti: Kitange omutuukirivu, sisabira abo bokka, naye nsabira n'abalinzikiriza ku Iw'ebigambo bya bano; bonna balyoke babeere kimu, nga ggwe Kitange bw'oli mu nze nange mu ggwe, nabo mu ffe babeere kimu, ensi ekkirize nga ggwe wantuma! Ekitiibwa kye wampa nange nkibawadde, balyoke babeere re
ddala ekimu nga ffe bwe tuli ekimu. Nze mu bo naawe mu nze: bafuukire ddala kimu, ensi etegeere nga ggwe wantuma ate nga wabaagala, nga nze bwe wanjagala. Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeera, balabe ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala nga n'ensi tennatondebwa. Kitange omutuukirivu, ensi tiyakumanya; nze nkumanyi, na bano baategeera nga ggwe wantuma. Nnabamanyisa erinnya Iyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagalamu kubabeeremu, nange mbe mu boo
Ebyo Omukama y'abyogera.
7) Yoanna 2, 1-11
Nnyina Yezu yaliyo ku mbaga.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yoanna.
Mu nnaku ezo, ne wabaawo obugole mu Kana eky'e Galilaaya; Nnyina Yezu yaliyo, ne Yezu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga. Evviini bwe yaggwaawo, Nnyina Yew n'amugamba nti: Evviini tibakyalina! Yew n'amugamba nti: Mukazi, ekyo nze naawe tukifaako ki? Akaseera kange tikannatuuka! Nnyina n'agamba abaweereza nti: Kyonna ky'anaabagamba, mukikole! Awo waaliwo amatogero ag'amayinja mukaaga nga gateekeddwawo olw'okunaaba kw'Abayudaaya, buli ttogero nga livaamu ebita makakaba bibiri oba bisatu. Yew n'abagamba nti: Amatogero mugajjuze amazzi! Ne bagajjuza okutuuka ku mugo! Awo Yezu n'abagamba nti: Kaakano musene mutwalire katikkiro w'embaga. Ne batwala! Naye katikkiro w'embaga bwe yalegako ku mazzi agafuuse ewiini gy'ataamanya na gy'evudde, sso abaweereza abaasena amazzi bo baali bamanyi, awo n'ayita awasizza, n'amugamba nti: Omuntu yenna asooka kugabula vviini nnungi; naye abantu bwe bamala okukkuta, n'aleeta eteri nnungi! Sso ggwe waleseeyo evviini ennungi okutuusa kati! Mu byewuunyo bya Yezu ekyo kye kibereberye; yakikolera mu Kana eky'e Galilaaya, n'ayolesa ekitiibwa kye, n'abayigirizwa be ne bamukkiriza.
Ebyo Omukama y'abyogera.
1) Matayo 5, 1-12
Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo.
Mu budde buli, Yezu bwe yalaba abangi batyo n'ayambuka ku lusozi; bwe yamala okutuula, abayigirizwa be ne bamusemberera. N'ayasamya akamwa ke n'agamba nti: Beesiimye abaavu mu mwoyo, kubanga be bannyini bwakabaka bwa Katonda. Beesiimye abateefu, kubanga be balirya ensi. Beesiimye abasinda, kubanga be balikubagizibwa. Beesiimye abalumwa enjala n'ennyonta eby'obutuukirivu, kubanga be balikkuta. Beesiimye ab'omutima omulongoofu, kuba be baliyitibwa abaana ba Katonda. Beesiimye abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga be bannyini bwakabaka obw'omu ggulu. Mwesiimye bwe banaabakonjeranga buli kigambo kibi kyonna okubeera nze, nga balimba: Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Anti abalanzi abaasooka nabo bwe baayigganyizibwa batyo.
Ebyo Omukama y'abyogera.
2) Matayo 5, 13-16
Mmwe kitangaala ky'ensi.
Ebigambo by'Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Mataya.
Mu budde buli, Yezu yagamba abayigirizwa be, nti Mmwe munnyo gw'ensi. Kale obanga omu nnyo gusaabulukuka, guddamu gutya ensa? Guba tigukyalina mugaso wabula okumansibwa ebweru, abantu ne bagulinnyirira. Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekikubiddwa ku lusozi tikiyinza kukisibwa. Era tibakoleeza ttawaaza kusaanikira nsaaniki re mu kibbo; wabula ewanikibwa ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nju. Ekitangaala kyammwe kyakire bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu,
Ebyo Omukama y'abyogera.