Omukolo gwa Matrimonio
Omusaserd:
Ab’oluganda abaagalwa ennyo, mukunngaanye mu nnyumba y’Ekkereziya. Mwagala omubaka ow'Ekkereziya n'ekibiina kyonna kibeerewo nga Katonda asiba okwagala kwammwe okukunyweza obutalekaamu kasagala. Abaamala edda okutukuzibwa mu Batismu, nga bafunye okwagala batyo, Kristu yennyini okwagala okwo yakuwa omukisa, ne kufuuka kunywevu, olw'essakramentu, nga kwa maanyi, buli omu n’anywerera ku munne ennaku zonna, nga bagumira byonna obufumbo bye bubatuma.
Omusaserdooti abuuza abagole, ne bayanukula
Omusaserd: (Gundi ne gundi) Ekkereziya wa Katonda mumusaba ki?
Abagole: Okufumbiriganwa ng'Eklezia wa Katonda bw’alagira.
omusaserdooti abuuza abazadde b’abagole
Omusaserd: Abazadde b'abaana bano, mukkirizza abaana bammwe bafumbiriganwe?
Abazadde: Tukkirizza.
Omusaserd: (Gundi ne gundi) tewali abawalirizza? Obufumbo Mubwerondedde ne mubwesiimira ku bwammwe?
Abagole: Tewali atuwalirizza tubwesiimidde.
Omusaserd: Mwetegese obutaswaaza bufumbo nga mwagalana, buli omu ng'assamu munne ekitiibwa okutuusa ddi na ddi?
Abagole: Twetegese!
Omusaserd: Mwetegese okusanyukira mu kuzaala abaana, nga Katonda bw’aliba ababawadde, n'okubagunjula nga Kristu
n'Ekkereziya bwe balagira, nga n'enneema za Matrimonio bwe zibayamba?
Abagole: Twetegese.
Omusaserd: Essakramentu lino teribawa nneema yokka,libatikka n'omugugu. Ekiragaano kye mukuba kya kutuusa kufa, mu bizibu ne mu byangu, mubwavu ne mu bugagga, mu bulamu ne mu bulwadde, mu buvubuka ne mu bukadde. Omugugu mukkiriza okugwetikka?
Abagole: Tukirizza kasita enneema ya Katonda w'eri.
Omusaserd: Anti mwagala okukuba ekiragaano ekitukuvu ekya Matrimonio, kale mwannyina w'omugole, mu linnya ly'abazadde mwana munno mukwase munne gwe yeerondedde.
Ekiragaano
Muko agaba omuwala
1. Omugole omusajja: Nze, …………nkufuna ggwe ……….. obeere mukazi wange, nkulagaanya okukunywererako ne bwe tulibeera obulungi, ne bwa tulibeera obubi ne mu bulwadde ne mu bulamu; nja kukwagala, nja kukussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwange
Oba Omusaserdooti abuuza
2. (Gundi) oyagala okuwasa (Gundi) ono abeere mukazi wo nga Kristu n’Ekkereziya bwe baagala?
Omugole Omusajja: Njagala
1. Omugole omusajja: Nze, …………nkufuna ggwe ……….. obeere baze, nkulagaanya okukunywererako ne bwe tulibeera obulungi, ne bwa tulibeera obubi ne mu bulwadde ne mu bulamu; nja kukwagala, nja kukussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwange
Oba Omusaserdooti abuuza
2. (Gundi) oyagala okufumbirwa (Gundi) ono abeere balo nga Kristu n’Ekkereziya bwe baagala?
Omugole Omukazi: Njagala
Omusaserd:
Ekiragaano kyammwe kino kye mukubye, mu maaso g'Eklezia, Omukama ow’ekisa akikakase, abawe n'omukisa
gwe mungi ddala. Katonda Ky'amaze okugatta omuntu takigattululanga.
Boona: Amiina.
Okuwanngana empeta
Omusaserdooti awa empeta omukisa
Omusaserd:
Twegayirire: Ayi Katonda, nnyini kigambo ekitukuza byonna, empeta eziri wano ziwe omukisa, buli yenna anaazeeyambanga nga bw’oyagala, nga teyeerabidde na kukwebaza, olw’okukoowoola n’erinnya lyo ettukuvu, muyambe aziggyemu obulamu obw’omwoyo n’omubiri. Tukikusaba nga tuyita Kristu Mukama waffe.
Boona: Amiina.
Omugole omusajja akwata empeta n’aginaanika mukazi we ng’agamba nti:
Omugole Omusajja:
(Gundi) nkuwa empeta eno otegeere nti nkwaagala era nja kukunywererako okutuusa okufa. Mu linnya lya Patri n'erya mwana ne'rya Mwoyo Mutukirivu. Amiina.
Omugole omukazi naye akwata empeta n’aginaanika bba ng’agamba nti:
Omugole Omukazi:
(Gundi) nkuwa empeta eno otegeere nti nkwaagala era nja kukunywererako okutuusa okufa. Mu linnya lya Patri n'erya mwana ne'rya Mwoyo Mutukirivu. Amiina.
Omusaserdooti afundikira ng’agamba nti:
Omusaserd: Baliba babiri mu mubiri gumu, Mu linnya lya Patri n'erya Mwana n'erya mwoyo Mutukirivu.
Boona: Amiina.